Translations:Confessing Sins and Repenting/28/lg

Omuntu ow'omunda
Nga eddoboozi ery'omunda, omuntu waffe ow'omunda asobola okutulabula nga tunaatera okumenya etteeka. Ziwagalwa n'ebiffo bye twakuliramu n'ebyo ebyatwaalibwanga “ekituffu” oba “ekikyamu”. Naye bino tebyetaagisa okusinziira ku mitindo gya Katonda. Ekyo kitegeeza nti tetusobola kwesigama ku muntu waffe ow'omunda yekka. Oluusi omuntu waffe ow'omunda asobola okutuwa alamu ey'obulimba, ate mubifo ebimu ayinza okwesulirayo ogwanagamba era bwe kityo tatulabula newankubadde nga ekintu kiba kibi mu maaso ga Mukama. Tulina okw'ekebera ne Katonda bw'aba alaba ekintu kyonna ng'ekibi, era endowooza zaffe n'enneewulira zaffe zikyusibwe okusinziira ku ekyo.