Translations:Confessing Sins and Repenting/8/lg

Eky'okubiri, ekigambo “kibi” kisobola okutegeeza, okuvoola kw'omuntu eri ebiragiro bya Katonda. Katonda yeka yalina olukusa okunnyonnyola ekirungi n'ekibi ky'ekiriwa. Katonda ataddewo amateeka agakola kulw'obukumi bwaffe. Kyokka, ekibi tekili ku nneeyisa yokka. Ebikolwa byaffe bisibuka okuva mundowooza zaffe n'okuyayaanira kwaffe. Yesu annyonnyola kino mu Mataayo 5:27-28: