Translations:Overcoming Fear and Anger/2/lg

Ffe ffenna ob'olyawo tufunye ku kutya mubulamu bwaffe. Ebiseera ebimu okutya kwaffe kuyamba, kubanga wabelawo akaabi akagenda okujja era okutya nekutuyamba obukatagwamu nga tetulabye. Naye ebiseera ebilala, tuyinza okuwulila okutya kunji nyo okusinga nga bwekwandibade eri akaabi akatono oba ate nga mumazima tewali na kaabi konna, naye at'era nga tukyajude okutya. Nebwetuba nga tumanyi nti okutya kwampulira yaffe, tetusobola kukwegobako.