Version: 1.1

Olugero lwange ne Katonda

Mu kitabo ky'Ebikolwa by'abatume 9:1-18,tusoma kungeri Mukama gyeyakyusamu obulamu bwa Pawulo okutandika okugobelera Yesu.Mu suula eya 22:1-21, Pawulo ayogera olugero lunno mumaaso g'ekibina ekinene era musuula eya 26:1-23, awa obujulizi ku lugero lwe mu kooti mumaaso ga kabaka. Tusobola okutebeleza nti Pawulo yagambanga abantu olugero lwe buliwamu weyagendanga.

Mungeri y'emu,buly'omu kuffe ayinna olugero lwe ne Katonda: amazima kubiiki byetwayitamu ne Katonda era nengeri gyeyatukyusamu. Ekyo kitundutundu ku bulamu bwaffe, era tewali n'omu ayinza kukyegana. Era nga Pawulo, tusobola okugabana olugero lwaffe ne Katonda buly'ewaba omukisa okukola ekyo. Engero z'obulamu bwaffe zisobola:

  • Okulaga obunene bwa Katonda;
  • Okusikiliza abantu okwagala okuwulira ebisingawo ku Katonda;
  • Kituyamba okuzula abantu abo mumwoyo abaagala.

N'olw'ekyo, olugero lwo lusobola okukolanga olutindo okugabana olugero lwa Katonda

Ebimu kubiwandikidwa

  1. Ngatonaba...
    Obulamu bwange bw'ali bufanana butya mukusoka?
  2. Eky'ali enkyuka y'obulamu bwo
    Kiiki kyenawulila, era kiiki ekyatukawo? Lwaki kyankwatako? Nakolantya okusalawo okugobelera Yesu?
  3. Nga omazze...
    Katonda yankyusa ntya mukusoka? Kiiki kyensubila mubulamu bwange obupya?

Eky'omugaso:

  • Kuuma obubaka bo nga buumpi era nga bwangu (ebigambo nga 300/ mu dakika 3 ekinene; edakika 1-2 ziba nunji nyo): Salawo kw'ekyo ky'oyagala okusimbako esira era nabiki byewandiyagade okusigaza n'okwesigaliza.
  • Lekka enjogerayo etegelekeke: Wewale ebigambo by'abamadini era webuze nti: Omuntu oli omulala ategera kyenjagara okwogera?

Okuteka munkola: Lowoza kungeri gy'oyinza okugabana olugero lwo okusobola okubera kumulamwa eranga lugenda bulunji, abalala okusobola okulutegera. Wandika wansi olugero lwo era gezako okulubulira n'abalala.

Ngankozesa olugero lwange

Ebintu binno ebisatu byankizo kunjogera ey'omulamwa n'abalala:

Engero zaabwe

Sinsonga obanga oyogera na mugwira oba mukwano go:Wuliliza! Buuza ebibuzo ku makka g'abwe, ku obulamu bwabwe, ku byebalwanagana nabyo, okuyayana kwabwe era n'olugendo lwabwe ne Katonda.Gezako okuzula Katonda ky'alimukukola eri obulamu bwabwe.

Olugero lwange

Beera mwetegefu okugabana kungeri Katonda gy'akyusiza obulamu bwo mu kwogelezeganya okwabulijo.

Olugero lwa Katonda

Ekisinga obukulu gyebaali ky'ekiki Katonda ky'abawa. Nyonyola okusingawo (soomako ku "Olugero lwa Katonda") era wekanye engeri gyebakifunamu.

Ebilubililwa byange

Njagala okugabana olugero lwange n'abantu banno: