Obudde ne Katonda
Bwetuba nga twagala okumanya omuntu, twetaga okubera n'enkwatagana nabbo. Ky'ekimu nemunkolagana yaffe ne Katonda: Okumumanya obulungi, twetaga okufuna obudde bwetumara naye.
Omugaso gw'obudde bwaffe ne Katonda
- Okusinza Mukama: Katonda agwanira okutendereza kwaffe era agwanira n'obudde bwaffe.
- Okw'ogera ne Katonda: Mukusaba, tugabana ne Katonda ebiri ku mitima gyaffe. Tumuwuliliza naye asobole okwogera naffe era n'otukulembera.
- Okuyiga okuva gy'ali: Katonda ayagala okutuyigiliza okuyita mu kigambo kye, mu Baibuli, n'omwoyo gwe. Kinno kilinganga emere ey'omwoyo gyetuli okusobola okukula.
Eby'okulabirako okuva mu Bayibuli
Nonya enyiriri zinno ez'omubayibuli era ojjuzemu: Muntuki gw'eyogerako? Dii, Ludawa era omuntu onno amal'atya obudde bwe ne Katonda?
Olunyiriri | Omuntu | Obudde | Ekiffo | Kiiki ddala? |
---|---|---|---|---|
Zabbuli 5:3 | Dauda | Mumakya | ? | Okusaba n'okulindilira okudibwamu |
Danyeri 6:11 | ||||
Makko 1:35 | ||||
Lukka 6:12 | ||||
Ebikolwa by'abatume 10:9 | ||||
Ebikolwa by'abatume 16:25 |
Ebikozesebwa n'ebitesedwa ku lw'obudde bwaffe ne Katonda
- Bayibuli: Somayo enyiriri okuva mu Bayibuli era olowoze oluvanyuma ozisabilemu. Osobola okukozesa ebibuzo bya head-heart-hands kukino:
Omutwe: Kiiki kyenjiga wanno? Omutima: Kiiki ekikwata ku mutima gwange? Emikono: Nyinza ntya okuteka kinno munkora? - Ekiffo: Londa ekiffo w'oyinza okusisinkana ne Katonda nga tewali kiyinza kukubuzabuza.
- Obudde: Zuula obudde obulunji bw'oyinza okusisinkanilamu Katonda nga tebutataganyizibwa.
- Entekateka: Londa ekitaabo mu Bayibuli eky'okusomamu. Kulw'entandikwa, soma Lukka n'Ebikolwa by'abatume (mundagano empya).
- Kora notisi era obeeko g'ozigabanako naye: Ziwandike oba gabana endowoza yo ne mukwano go, kiiki ky'owulira nti Mukama ky'akugamba, ebibuzo byo, ensonga zo ez'okusabira oba ezamukwano go, engeri Mukama gyeyayanukuramu esara yamwe, enyiriri z'omubayibuli ezizamu amanyi,...
Okw'eyama kw'obudde bwange ne Katonda
Obudde:
Ekiffo:
Entekateka: