Ekanisa
Ekanisa makka
Bwetukiliza okwagala kwa Katonda era netuzalibwa bujja, tufuka omu ku makka ga Katonda. Buli mwanna ow'omwoyo yetaga amakka oba family ey'omwoyo Katonda ye kitaffe owomugulu era nga abagobelezi ba Yesu, tulinganga ab'oluganda abalenzi n'abawala. Amakka kitegeza ekiffo ekilunji okukulilamu era n'okuyiga kyetuli nga abaaana ba Katonda. Amakka gabudabuda, era tuyiga butya bwetubelawo munkolagana.
Ekanisa mubili
Tuli mubili gwa Yesu=eyo yengeri butya endagano empya gy'enyonyola enkolagana wakati wa Yesu n'abagobelezi be. Omubili kitegeza nti buly'omu alikitundutundu eranga ayina omulimu ogwenjawulo. Yesu yemutwe, twetaga okuba nga tugatidwa ku Ye okusobola Ye okubanga akwasaganya bulikimu era n'okutukulembera. Tutekedwa okubanga tukola fenna era nga omubili bwegukola. Mungeri eyo tufanana Yesu era asobola okukola nga ayita muffe.
Ekanisa nga akakundi
Akakundi kyekibinja ky'abantu abasalawo okukolera awamu kulw'okolesebwa okumu. Batendekebwa wamu era bakola buli ekisana okutuka kunsonga. Yesu ayagala ekanisa Ye okwegata ku lw'obwakabaka bwe. Ye atulaga anni gwetuyinza okuzimba akakundi naye era anni ayinza okututendeka.
N'olw'ekyo kilabikiladala nti “ekanisa” si kizimbe, naye akabinja k'abagobelezi ba Yesu. Ekanisa esobola okusisinkana wonna: mu paaka, masomero, kaffezi, mu bizimbe by'ekanisa, mumawofisi, ewakka oba kumikutu.
Bifanana bitya ebifananyi ebisatu binno eby'ekanisa ( nga amakka, nga omubili, nga akakundi) mu bulamu bwo?
Ekanisa mukitabbo ky'ebikolwa by'abatume
Mundagano empya, kigambo “kanisa” kikozesebwa mungeriv sattu ezenjawulo:
- Abagobelezi bonna aba Yesu munsi yonna (“omubili gwa Yesu” okwetolola ensi)
- Abagobelezi ba Yesu bonna mukibuga/ mukitundu
Ekyokugeza: “ekanisa mu Yeluzalemi” (Ebikolwa by'abatume 11:22) - Akabinja k'abagobelezi ba Yesu akatela okusisinkana
Ekyokugeza: “ekanisa mu nyumba ya Pulisila ne Akwila” (Abaluumi 16:5)
Wanno tutunulira amakulu ag'okusattu. Bikki ebikola ekanisa?
Sooma Ebikolwa by'abatume 2:37-47.
Ebilagwa mu kanisa
Okubatiza
Ekigambo “okubatizibwa” kitegeza “okunyika” nga okutukuza oba okwooza. Nga Yesu bweyabatizibwa, tumwegatako nga naffe tubatizibwa. Yesu alagira abayigilizwa be:
“... mubabatize mulinnya lya Taata n'ery'Omwanna n'ery'Omwoyo omutukuvu.” (Mataayo 28:19)
Sooma Ebikolwa by'abatume 2:38 nate, era labba engeri gyenyonyora kinno nengeri gyelaga ebitundu ebikulu “eby'okuzalibwa omulundi omulala”:
Twenenya era netuzika obulamu bwaffe obukadde. Mungeri y'emu Yesu gyeyazikibwa aw'oluvanyuma n'azukila nate, mukubatizibwa tuyingira mu mazzi era netugafuluma n'obulamu obupya (Abaluumi 6:1-11). Awo mu famile yaffe empya tutandika obulamu obupya nga bulungamizibwa n'eky'okulabilako kya Yesu eranga bujuzidwa omwoyo omutukuvu. (sooma ku “Okubatizibwa” kubisingawo).
Eky'egulo kya Mukama
Yesu yatekawo eky'egulo ekyo tusobole okujukila okuffaKwe n'okuyuwa kw'omusayi Gwe kulw'ebibi byaffe (Lukka 22:15-20). Tutwala akasera netufumintiliza kw'ekyo Yesu kyeyatukolera era netumwebaza. Nga tukiyina, tutekedwa okutunula mubikolwa byaffe era netwenenya ebibi byaffe (1Abakolinso 11:23-29, labba nate ku “Okwatula ebibi n'okwenenya”).
Omukago
Akabinja k'abantu ababatizidwa kati basalawo okugobelera Yesu wamu. Batta omukago, nebatandika okwelaba nga ekanisa era nebewayo okukola okwagala kwa Katonda bwonna.
Abakulembeze
Ekanisa enunji erinna abakulembeze abafayo eri abalala era nga babayamba okukola okwagala kwa Katonda mubitundutundu by'obulamu bwabwe bwonna.
Okuwayo
Okuwayo ebilabo eby'okwebaza eri Katonda kimu ku bikolwa eby'okusinza. Tuwayo sadaka eri Katonda mungeri nyinji mubitundu eby'obulamu bwaffe, okugeza obudde bwaffe n'obusobozi bwaffe. Katonda n'era atusabye n'okuwayo ebitundu kubyenfuna zaffe gy'Ali. Enongeri enkulu ey'okuwayo mu makka ga Katonda – mukwetolola, ekitudu, n'obwakabaka bwa bulijjo
Okusinza
Tutendeleza Katonda era mukubelawo Kwe.
Okukungana
Tufayo eri abalala mumukwano era nga tulinabetegefu okwesadaka kulw'abalala.
Okusaba
Ngatuli fenna twogera ne Katonda.
Okutendekebwa
Tusoma Bayibuli era netusomesa abalala okugondera Katonda mubulamu obwabulijo.
Okukubisamu
Tugabana enjiri era netufula abayigilizwa kulw'amannyi g'Omwoyo Omutukuvu.
Mutwale ekasera kati nga akabinji okwegerageranya: Ki kubilagwa binno byemuyina mukabinja kamwe?
Dalaki lyemuzako musobole okusembelera endowoza ya Katonda ku kanisa? (Kiiki kyemwetaga okugatako? Ludawa wemwetaga okukozesa obudde mungeri eyenjawulo? n'ebilala.)