Okwatula ebibi n'okwenenya
Okuwulira amazima agataataaganya kizibu, n'ddala ng'amazima ago gatukwatako era nga ganatwetaagisa okukyuka. Okutwaliza awamu, twandibadde twagala okunoonya ebizibu ebiri mu bulamu bw'abalala era n'okwoogera ku kiki kyebateekedwa okukyusa; naye singa tutunulira mu bwesimbu mu bulamu bwaffe buli lunaku, tusobola okufuna ebirowoozo, ebigambo, oba ebikolwa ebitali birungi.
Mu kifo ky'okwolekagana n'amazima, tutera okweyisa mu emu ku ngeri ssatu. Ebisera ebisinga tweyisa mubutafayo eri ekizibu ekyo. 1) Ekizibu tukibuusa amaaso. Buli kimu tukiyera wansi w'ekiwempe ne tugezaako okukweka ekibi ekyo. Tweyisa ob'olyawo nga awatali kibaddewo oba olw'okuba tulina amalala manji nnyo okusaba okusonyiyibwa oba kubanga tulina ensonnyi.
2) Oba twegeraageranya n'abalala era ne tukomenkereza nti tebatusinga: “Si kibi nnyo. Ffenna tuli bantu.” Ekisembayo, 3) twewozaako nga tunenya embeera oba eby'emabega nga tugamba nti tetulina engeri ndala gye tuyinza kukola: ky'akusalawo. Nnali sisobola kwewala.
Obukodyo buno bwe bumu kubulaga okw'egulumiza kwaffe era n'okugezaako kwaffe okukuuma ekitiibwa kyaffe. Naye mu byaddala bino bitukulembera okwongera okukka mu makubo ag'obutali bwenkanya era tutondawo omukutu gw'obulimba okutangira amazima okuzuulibwa. Tuberawo n'okutya okw'amazima okulabisibwa mu kitangaala. Mu kisera kye kimu, tuganya endowoza zaffe okw'esulirayo ogwanagamba era, tulaba kitono nnyo mu ngeri ki gye twekosaamu n'abalala.
Omuntu yenna akweeka ebibi bye tawangula. Naye oyo yenna akkiriza ebibi bye n'abiwaayo alifuna okusaasirwa. (Engero 28:13)
Ekibi kye ki?
Okusookera ddala, ekigambo “kibi” kikozesebwa okutegeeza amaanyi agafuga ensi n'abantu. Ekibi kitutega mu birowoozo n'enneeyisa ezizikiriza. Naye Ye Katonda atuwa engeri ey'okufunamu eddembe okuva mu maanyi ag'ekibi. Bwetulondawo engeri Ye, Ajja kutuwa obulamu obuggya – tufuuke “abalokole”.
Eky'okubiri, ekigambo “kibi” kisobola okutegeeza, okuvoola kw'omuntu eri ebiragiro bya Katonda. Katonda yeka yalina olukusa okunnyonnyola ekirungi n'ekibi ky'ekiriwa. Katonda ataddewo amateeka agakola kulw'obukumi bwaffe. Kyokka, ekibi tekili ku nneeyisa yokka. Ebikolwa byaffe bisibuka okuva mundowooza zaffe n'okuyayaanira kwaffe. Yesu annyonnyola kino mu Mataayo 5:27-28: “Mwawulira bwe baagambibwa nti Toyendanga:' naye nange mbagamba nti buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng'amaze okumwendako mu mutima gwe..”
Katonda ayagala tubeere abatuukiridde (Mataayo 5:48). Ekyo kitegeeza nti tekiri kuba nga wewala ebikyamu, naye n'okutwala obuvunaayizibwa okukola ekituufu: “Kale amanya okukola obulungi n'atakola, kye kibi eri oyo.” (Yakobo 4:17).
Mu bufunze, ekibi bye birowoozo, ebigambo, n'ebikolwa byonna ebikontana n'emitindo gya Katonda.
Ebiva mu kibi
Tusobola okwonoona eri ffe, eri abalala n'eri Katonda. Ebiva mu kibi bisobola okuba eby'enkizo oba si nnyo, okusinziira ku ani akosedwa: Kyali mu birowoozo byange byokka? Nina kye nnakoze ne kireetera abalala okubonaabona olw'ebivaamu? Oba nina abalala be nayingiza mu kibi?
Mu ngeri yonna kibi mu maaso ga Katonda era kyonoona enkolagana yange naye. Bwe tutakola Mukama Katonda ky'ayagala, tukola sitaani ky'ayagala. Bwe twonoona, tuggulira sitaani oluggi era ne tumuganya obuyinza mu bulamu bwaffe. Okukiteeka mu ngeri ey'enjawulo: Ekibi bulijjo kireeta ekikolimo (eky'okulabirako: omuntu alimba abuusibwabuusibwa; omululu guviirako obutakusibwa buli kiseera; empulira ya gunsinze etusannyalaza). Engeri yokka ey'okusumululwa okuva mu kikolimo ekyo ne tuddamu okuggala olujji nate kwe kwatula ekibi kyaffe era n'okukyuka okukivaamu.
Emitendera gy'okwenenya
Saba ku ntandikwa: Katonda zibula amaaso gange nsobole okulaba ekibi kyange nga bw'okiraba
1. Okumanya ekibi
Nkomya okutukuza ensonga era n'enfuuka mwesimbu ddala: Kye nnakoze ky'abade kikyamu. Ekibi kyange nakyo si kintu kitono ekiyinza okulagajjalkirwa, naye kirina obulabe obuvaamu gy'endi n'eri abalala. Kati ntwala obuvunaanyizibwa kw'ekyo.
2. Okwatula ekibi
Nzikiriza ekisobyo kyange eri Katonda era ngamba nti nsonyiwa. Bwe mba nga nsobeza eri abantu abalala, njatula ebibi byange gyebali. N'ensaba okusonyiyibwa.
3. Okuzimba enkolagana
Singa abalala baatuusibwako obulabe olw'ekibi kyange, nkola ekisoboka kyonna okusasula ebyonoonese.
4. Endowooza n'ebikolwa ebipya
Oluvannyuma lw'okuva mu kibi nzira eri Katonda ky'ayagala mu kifo ky'ekyo.
Nkebera endowooza yange ne n'emize gyange era ne ntandika okulowooza n'okutambulira ku bigendererwa bya Katonda. Mmusaba ampanirire nga nkola bwentyo.
Buuza ku nkomerero: Nkakasa nti Katonda ansonyiye olw'ekibi kino?
Eky'okudamu kyo bwekiba nti nedda, awo noonya kubuyambi bw'omuyambi.
“Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu”. (1 Yokaana 1:9)
Ebisingawo
- Okwejjusa
- Bwe ngezaako okulekawo omutendera kaba kabonero akalaga nti mu butuufu sikyejjusa byonna bye nnakola.
- Okukozesa obuyambi bw'omuyambi
- Ku lwaffe ffekka kitera okuba ekizibu ennyo gye tuli okuyita mu mitendera gyonna egyetaagisa egy'okwenenya. Ekibi bwe kiba nga tekikyali kyama, kifiirwa amanyi. Y'ensonga lwaki Yakobo 5:16 atukubiriza obutayita mu mitendera gino ffekka: “Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone.”
- Omuntu ow'omunda
- Nga eddoboozi ery'omunda, omuntu waffe ow'omunda asobola okutulabula nga tunaatera okumenya etteeka. Ziwagalwa n'ebiffo bye twakuliramu n'ebyo ebyatwaalibwanga “ekituffu” oba “ekikyamu”. Naye bino tebyetaagisa okusinziira ku mitindo gya Katonda. Ekyo kitegeeza nti tetusobola kwesigama ku muntu waffe ow'omunda yekka. Oluusi omuntu waffe ow'omunda asobola okutuwa alamu ey'obulimba, ate mubifo ebimu ayinza okwesulirayo ogwanagamba era bwe kityo tatulabula newankubadde nga ekintu kiba kibi mu maaso ga Mukama. Tulina okw'ekebera ne Katonda bw'aba alaba ekintu kyonna ng'ekibi, era endowooza zaffe n'enneewulira zaffe zikyusibwe okusinziira ku ekyo.
- Ani gwe nsaba okusonyiyibwa?
- Ekibi bulijjo kisaana okwatulwa eri abantu abakoseddwa ebivaamu. Kino kietegeeza nti nneetaga okusaba okusonyiyibwa mu byonna be nnatuusaako obulabe. Singa nnayonoona eri omuntu mu birowoozo byange byokka, nkyatula eri Katonda era sisaanidde kukitwala eri omuntu oyo. Bw'oba tokakasa ngeri ki era ani gw'olina okwogera naye, buuza omuntu akuyamba okuyita mu nkola eyo.
Okwekebejja
Soma Abaggalatiya 5:19-21. Twala eddakiika bbiri obuuze Katonda ebibuuzo bino era bako wammanga era owandiike:
Mukama, Ludawa wensobeza gy'oli oba eri abalala?
Okuteka mu nkola
Bintu ki bye njagala okukolako mu kusooka? Ani alina okunyamba mu kino?
Nnyonnyola mu ngeri ey'enjawulo engeri gy'onoogenda mumaaso!