Okuwangula okutya n'obusungu
Okugala enzijji enzigule mubulamu bwaffe.
Ffe ffenna ob'olyawo tufunye ku kutya mubulamu bwaffe. Ebiseera ebimu okutya kwaffe kuyamba, kubanga wabelawo akaabi akagenda okujja era okutya nekutuyamba obukatagwamu nga tetulabye. Naye ebiseera ebilala, tuyinza okuwulila okutya kunji nyo okusinga nga bwekwandibade eri akaabi akatono oba ate nga mumazima tewali na kaabi konna, naye at'era nga tukyajude okutya. Nebwetuba nga tumanyi nti okutya kwampulira yaffe, tetusobola kukwegobako.
Obusungu mungeri y'emu busobola okukosa obulamu bwaffe. Wayinza okuberawo embera ezimu ezituletera mbagilawo okujuzibwa obusungu. Ebiseera ebimu obusungu bwaffe buyinza okuba nga bwebwo, naye ebiseera ebimu buyinza okuletebwa n'empulira yaffe etali yabulijo. Eky'atukawo ob'olyawo kiyinza okubera nga sikyekizibu ekinene, naye kikonye ku kintu ekibade munda muffe. Awo ekivamu bw'ebusungu obwamanyi okutasibuse kumbera yenyini. Kasita obusungu buuno bubera nga bukyali munda muffe, bujakuvangayo kiseera ku kiseera.
Abantu abamu bawulira empulira eno etali yabulijjo bulilunaku, abalara kiseera na kiseera. Kinno sikyamubutanwa, naye waliwo ensonga kulw'akyo. Engeri entuffu ey'okunyonyora lwaki kilibwekiti, kw'ekukozesa okufananyizibwa kw'enziji mubulamu bwaffe. Tusobola okwelowozako ffe nga abayina olujji olw'okutya. Kasita lubeera nga lugule, lukiliza okutya okuyingira mubulamu bwaffe. Olujji luyinza okugulwawo katonno era n'ebiseera ebimu okutya kutonno nekuyingira. Naye at'era luyinza okugulwawo mubugazi, ekiletera omuntu okufugibwa okutya mubuli kintu ky'alowoza oba ky'akola. Mungeri emu, tuyina olujji olw'obusungu mubulamu bwaffe. Enzijji zinno bweziba nga zigadwa, tewali kutya na busungu obutali bwabulamu buyinza kuyingira mu bulamu bwaffe. Enzijji zinno zisobola okugulwawo abantu abalala at'era naffe benyini. Ebiseera ebisinga, olujji lwagulwawo okusoka bwetwali nga tukyali baato n'omuntu eyali eky'okulabilako mubulamu bwaffe, okugeza bazadde baffe. Oluvanyuma, tuyinza okugula olujji okusingawo n'ebyo byetukola.
Amawulile amalunji galinti kisoboka okugalawo enzijji zinno nate. Katonda tayagala ffe kufugibwa na kibbi kya kutya n'obusungu, naye ayagala ffe tubere badembe!
Olujji olw'okutya n'olujji olw'obusungu
Olujji olw'okutya |
Olujji olw'obusungu | |
---|---|---|
Obubonero singa olujja lubanga lugudwa |
|
|
Akakunizo akakyamu | Okugezako okwekuma | Okugezako okwewoleleza |
Amazima | Katonda ayagala okutukuma | Katonda ayagala okutuwoleleza era n'okuwolera kulwaffe |
Engeri ey'okugalawo olujji olugudwa
Katonda tayagalangako ffe kufugibwa na kutya oba busungu. Bweyatonda ensi yaffe, bulikintu kyali kitukilide. Tewaliwo kutya, bulumi, kuffa, era tewali butali bwenkanya. Ekitalo, abantu abasoka, nga kotade naffe ffenna, twefulira Katonda netulondawo ekibbi mukifo kyekilunji. Ekyava mukinno y'ensi emenyefu, sitani mwayina okufuga okunji. Agezako mubulikiseera okufuga abantu. Akozesa enzijji zinno ezigudwa okuyingiza okutya okubi n'obusungu okukuma abantu nga bawambidwa byo.
Enzijji zigurwa na kibbi, ekyaffe oba eky'omuntu omulara. Ekibbi kiwa omwaganya sitani mubulamu bwaffe. Nga ojeko ekyo, kituletera okutandika okukililiza mu bulimba. Obulimba bunno bwebukuma olujji okusigala nga lugule. Ebyokulabilako:
- Kitawo yasunguwala kulw'ekyo kyewakola era n'atakuwuliliza yadde. Wasunguwala kulweneyisa ye et'ala ya bwenkanya. Okiliza “sijja kuyisibwa mu bwenkanya okujako nga nwanide edembe lyange.”
- Omusomesawo yakuswaza mumaaso g'ekibina. Kati otya okwogera ekintu kyonna mu kibina kubanga okiliza “silli muyizi mugezi.”
Katonda yasubiza ekyokudibwamu ku kizibu ekyekibi n'obumenyefu munsi eno. Okuviladala kukibi mubuntu ekyasoka, Yasubiza okujja kw'omulokozi oyo alibetentya omutwa gwa sitani (Lubelyebelye3:15). Omulokozi oyo ye Yesu, Omununuzi. Yemuntu yekka kunsi eno atayononangako. Nekulwensonga enno sitani teyamuyinako buyinza. Yesu yatibwa bantu, naye yazukila oluvanyuma lwenaku saatu. Okuyita mukinno, Katonda yakakasa obubaka nti Yesu awangude sitani! Buli eyesiga Yesu ajakubera wadembe okuva mukufugibwa kwa sitani. Nga Yesu yasobola okutusumulura, omulimu gwe gwamugaso mukugala enzijji enzigule. Agamba mu Yokanna 8:31-32:“ bwemugondera okuyigiliza kwange, muli ddala bayigilizwa bange. Awo munamanya amazima. Era n'amazima galibafula badembe.”
Ebyawandikibwa bibiri ebikwatagana kunzijji ebbili
“Mubusungu bwo toyonona”: Tokiliza enjuba okugwa nga okyali musunguwavu, era towa sitani mwaganya.(Abefeeso 4:26-27)
Katonda teyatuwa mwoyo gwa kutunafuya na kutya. Yatuwa omwoya atuwa amanyi n'okwagala. Atuyamba okwefuga.(2Timoseewo 1:7)
Kati Katona gw'emwoyo, era n'awali Omwoyo wa Katonda, waliwo edembe.(2Abakolinso 3:17)
Emitendera ej'okugalawo enzijji
Ebiseera ebisinga waliwo ebintu ebyenjawulo ebikuma enzijji zinno nga nzigule mu bulamu bwaffe. Katonda ayagala okuzigala zonna era amanya bulunji nyo awokutandikila. Nga omubuziza mubulambulukufu, tumuwa omukisa okwogala naffe. Omutendera gutandika nakubuza Katonda bibuuzo era naye okuberako by'atubikulira, ebiseera ebisinga embera olujji mwelwagulibwa mubulamu bwaffe. N'okuyambibwa kwa Yesu, tukola emitendera jonna ejetagisa okujawo empulira embi eyava mumbera eyo.
Ebiseera ebisinga Katonda tabikura bintu byonna mulundi gumu kubanga ekyo kijja kubera kizitonyo jetuli ebiseera ebisinga. Wabula ayagala okutuzamu amanyi era atambule wamu naffe okuyita mumutendera gunno daala ku daala.
Okulungamizibwa mu kuteka munkora
Kozesa obuyambi obw'omuyambi omulunji! Bw'oba nga owulira okusindikilizibwa oba nga towulira bulunji kukora kinno, bambi kyogele mubulambulukufu! Bw'oba nga olumwetegefu okwogela ne Katonda, osobola okutandika:
Omwoyo wa Mukama, lujji ki lw'oyagala okunkulembera ko? Yesu, nkuma nga ngenda.
Olujji lunno lwagulwa ddi mu bulamu bwange okusokera ddala? Aani yalugula?
- Lekka Katonda akulage ekyatukawo. Bweluba nga olujji lwagulibwa n'omuntu omulara yenna: sonyiwa omuntu oyo kulw'ekyo kyeyakola era ne kulw'okugula olujji olwo mu bulamu bwo. Laaba “Okusonyiwa daala ku daala” okumanya ebisingawo.
bw'obanga gwe wagulawo olujji: Saaba Katonda okusonyiyibwa era wenenye.
Bulimba ki bwenzikiliza obukuuma olujji nga lugule?
- Katonda, nsonyiwa okukolera awamu n'obulimba obwo, bambi nsonyiwa. Nganna obulimba nti ______.
Yesu, Gegaliwa amazima?
- Yogera amazima era ogakilize.
Kebera era: Yesu, olijji lufanana lutya kati? Osobola okulugala bambi?
- Bwelubera nga telusobora kugalwa lwonna mukiseera kinno, musaabe okuyimilira mu lujji luleme kukozesebwa.